Romans 9:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bo Bayisirayeli, be baafuna okwebonanyizibwa ng'abaana, ekitiibwa n'ebiragaano, be baaweebwa Etteeka, n'okusinza n'ebisuubizo;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
be Bayisirayiri, abantu ba Katonda abalonde. Katonda yabalaga ekitiibwa kye, n’akola nabo endagaano, n’abawa n’amateeka ge. Yeekaalu yagibawa, n’abawa n’ebyasuubizibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Aba Isiraeri; abaweebwa okufuuka abaana, n'ekitiibwa, n'endagaano, n'okuweebwa amateeka, n'okuweerezanga Katonda, n'ebyasuubizibwa;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Be Bayisirayeli, abaaweebwa omukisa okuba abaana ba Katonda, era abaaweebwa ekitiibwa, n'endagaano, n'Amateeka, n'engeri ey'okusinzangamu Katonda, era abaasuubizibwa ebirungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
be Baisiraeri abaweebwa okufuuka abaana, n'ekitiibwa, n'endagaano, n'okuteekerwa amateeka, n'okuweerezanga Katonda, n'ebyasuubizibwa;