Romans 9:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Togamba nti Katonda kye yagamba kyagwa butaka. Kubanga bonna ab'enda ya Yisirayeli si ba Yisirayeli,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye si kuba nti Katonda yalemwa okutuukiriza kye yasuubiza. Si bonna ab’omu Isirayiri nti bantu ba Katonda ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye si kubanga ekigambo kya Katonda kyavaawo. Kubanga abava mu Isiraeri, si be Baisiraeri bonna,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye si kwe kugamba nti ebyo Katonda bye yasuubiza byalema okutuukirizibwa. Abayisirayeli bonna si be Bayisirayeli ddala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye si kubanga ekigambo kya Katonda kyavaawo. Kubanga abava mu Isiraeri, si ba Baisiraeri bonna: