Romans 9:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
na bonna si baana ba Yiburayimu olw'okubeera nti zzadde lye, wabula nti: “Mu Yizaake ezzadde lyo mwe linaafuniranga erinnya.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate so si nti ly’ezzadde lya Ibulayimu bonna balyoke babeere abaana, naye ekisuubizo kyali ku Isaaka bwe kyagambibwa nti, “Mu Isaaka mwe ndituukiririza ebyo byonna bye nakusuubiza.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
so si kubanga lye zzadde lya Ibulayimu, kyebaava babeera abaana bonna; naye, “Mu Isaaka ezzadde lyo mwe linaayitirwanga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era abazzukulu ba Aburahamu mu mubiri, si be baana ba Katonda. Wabula kyawandiikibwa nti: “Mu Yisaaka mwe muliva abaliyitibwa abazzukulu bo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
so si kubanga lye zzadde lya Ibulayimu, kyebava babeera abaana bonna: naye, mu Isaaka ezzadde lyo mwe linaayitirwanga.