Romans 9:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kwe kugamba nti abaana b'omubiri si be baana ba Katonda, wabula abaana b'ebisuubizo be babalibwa ng'ezzadde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kino kitegeeza nti abaana ab’omubiri si be baana ba Katonda, wabula abo ab’okusuubiza be babalibwa okuba ezzadde lya Ibulayimu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kwe kugamba nti, abaana ab'omubiri, abo si be baana ba Katonda; naye abaana b'okusuubiza be babalibwa okuba ezzadde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekyo kitegeeza nti abo abazaalibwa mu kuzaalibwa okwa bulijjo, si be baana ba Katonda; wabula abo abazaalibwa nga kiva ku kusuubiza kwa Katonda, be babalwa okuba abazzukulu ba Aburahamu abatuufu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kwe kugamba nti abaana ab'omubiri, abo si be baana ba Katonda; naye abaana b'okusuubiza be babalibwa okuba ezzadde.