Ruth 1:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Nawomi n'abaanukula nti: “Bawala bange, mweddire ewammwe. Lwaki mugenda nange? Nkyalina abaana mu lubuto abalisobola okufuuka babbammwe?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Nawomi n’abagamba nti, “Muddeeyo ewammwe bawala bange. Kiki ekibaagaza okugenda nange? Sikyasobola kuzaala baana balala bafuuke babba mmwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nawomi n'abagamba nti, “Nedda, baana bange muddeyo, kiki ekibaagaza okugenda nange? Nkyasobola okuzaala abaana balyoke babeere ba bbammwe?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nawomi n'agamba nti: “Muddeeyo, baana bange. Lwaki mwagala okugenda nange? Mulowooza nti nkyasobola okubazaalira abalenzi babawase?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nawomi n'agamba nti Mukyuke nate, baana bange: kiki ekibaagaza okugenda nange? nkyalina abaana mu lubuto lwange babeere babbammwe?