Ruth 1:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mweddire ewammwe, bawala bange; mugende, nze neekaddiyidde, sikyasobola kufumbirwa. Ne bwe nandigambye nti wakyaliyo essuubi, n'ekiro kino ne nfumbirwa ne nzaala abalenzi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mweddireyo ewammwe, bawala bange, kubanga nze nkaddiye nnyo sikyafumbirwa. Ne bwe nnandifumbiddwa ne nzaala abaana aboobulenzi;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukyuke, baana bange, mweddireyo, kubanga nze nkaddiye nnyo sikyasobola kuba na musajja. Ne bwe nnandibadde n'omusajja ekiro kino ne nzaala abaana ab'obulenzi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muddeeyo, baana bange, mugende, kubanga nze nkaddiye, sikyaddamu kufumbirwa. Ne bwe nandigambye nti nkyasuubira okufumbirwa, ne mba n'omusajja ekiro kino, ne nzaala abaana ab'obulenzi,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukyuke nate, baana bange, mweddireyo; kubanga nkaddiye mpitiridde okuba n'omusajja. Bwe nnaayogera nti Nsuubira, newakubadde nga mbeera n'omusajja ekiro kino, era ne nzaala abaana ab'obulenzi;