Ruth 1:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mwandirinze okutuusa nga bakuze? Mwandigize muleka okufumbirwa olw'okubeera bo? Nedda, bawala bange; nnyolwa nnyo okusinga mmwe, kubanga omukono gw'Omukama gwavaayo okunkuba.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
mwandibalindiridde okutuusa lwe bandikuze nga temunnafumbirwa? Nedda, bawala bange. Nnumwa nnyo okusinga mmwe, kubanga omukono gwa Mukama Katonda tegubadde nange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
mwandibalindiridde okukula balyoke babawase? Mwandiganidde ki okufumbirwa abasajja abalala? Nedda baana bange, nnumwa nnyo ku lwammwe, kubanga nze Mukama yambonereza.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kale mwandirinze okutuusa lwe bandikuze? Era ekyo kibaziyiza okufumbirwa abasajja abalala? Nedda, baana bange. Nnumwa nnyo okusinga mmwe, kubanga Mukama nze yambonereza.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale mwandibalindiridde okukula? kyemuliva muleka okuba n'abasajja? nedda, baana bange; kubanga nnumwa nnyo ku lwammwe, kubanga omukono gwa Mukama gwafuluma okulwana nange.