Ruth 1:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne batema emiranga, ne baddamu buto okukaaba. Orupa n'anywegera nnyazaala we, naye ye Ruusi n'amulemerako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baawulira ekyo, ne baddamu okukaaba. Awo Olupa n’anywegera nnyazaala we, n’amusiibula. Naye Luusi namunywererako ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne bayimusa nnyo amaloboozi gabwe, ne bakaaba nnyo amaziga nate. Olupa n'anywegera nnyazaala we n'amusiibula n'agenda. Naye ye Luusi n'amwesibako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne baddamu okutema emiranga n'okukaaba amaziga. Awo Orupa n'anywegera nnyazaala we okumusiibula. Naye Ruusi n'amwesibako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bayimusa eddoboozi lyabwe, ne bakaaba nate amaziga: Olupa n'anywegera nnyazaala we; naye Luusi ne yeegata naye.