Ruth 1:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nawomi n'amugamba nti: “Laba muganda wo wuuli azzeeyo mu bantu be n'eri balubaale be, ddayo naye.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Nawomi bwe yalaba ekyo, namugamba nti, “Laba, munno azzeeyo eri abantu be ne balubaale be, naawe kwata ekkubo omugoberere.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nawomi n'amugamba nti, “Laba muggya wo azzeeyo eri abantu be n'eri katonda we, naawe ddayo ogoberere muggya wo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nawomi n'amugamba nti: “Ruusi, laba muggya wo azzeeyo mu bantu be, ne ku balubaale be. Naawe mugoberere.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Laba, muggya wo azzeeyo eri abantu be n'eri katonda we: naawe ddayo ogoberere muggya wo.