Ruth 1:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ruusi n'ayanukula nti: “Tonkaka kukuleka, oba kuva ku kya kukugoberera, “kubanga yonna gy'onoogenda nange gye nnaagenda; w'onoosulanga nange we nnaasulanga. Abantu bo be baliba abantu bange; Katonda wo y'aliba Katonda wange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Luusi n’amwegayirira ng’agamba nti, “Tompaliriza kukuvaako, wadde obutakugoberera, kubanga gy’onoogendanga, nange gye nnaagendanga, gy’onooberanga, nange gye nnaaberanga, era abantu bo be banaabanga abantu bange, era ne Katonda wo y’anaaberanga Katonda wange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Luusi n'ayogera nti, “Tonneegayirira kukuleka, n'okuddayo obutakugoberera; kubanga gy'onoogendanga, gye nnaagendanga nze, era gy'onoosulanga, gye nnaasulanga nze, abantu bo be banaabanga abantu bange, era Katonda wo Katonda wange;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka Ruusi n'addamu nti: “Tonneegayirira kukuleka, era toŋŋaana kukugoberera, kubanga gy'onoogendanga, nange gye nnaagendanga. Abantu bo, be banaabanga abantu bange. Katonda wo, ye anaabanga Katonda wange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Luusi n'ayogera nti Tonneegayirira kukuleka, n'okuddayo obutakugoberera: kubanga gy'onoogendanga, gye nnaagendanga nze: era gy'onoosulanga, gye nnaasulanga nze: abantu bo be banaabanga abantu bange, era Katonda wo Katonda wange: