Ruth 1:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Gy'olifiira, nange gye ndifiira; eyo nange gye balinziika. Omukama ankole bw'atyo, ate ddala asinze nawo, singa si lumbe lwe lulitwawukanya.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Gy’olifiira nange gye ndifiira era eyo gye balinziika. Mukama Katonda ankangavvule nnyo bwe ndyawukana naawe wabula mpozi okufa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
gy'olifiira, nze gye ndifiira, era gye balinziika. Mukama ankole bw'atyo era n'okusingawo, oba ng'ekigambo kyonna kiritwawukanya ggwe nange wabula okufa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Gy'olifiira, nange gye ndifiira, era gye balinziika. Mukama ambonereze n'obukambwe singa wabaawo ekinjawukanya naawe, okuggyako okufa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
gy'olifiira, nze gye ndifiira, era gye balinzika: Mukama ankole bw'atyo era n'okusingawo, oba ng'ekigambo kyonna kiritwawukanya ggwe nange wabula okufa.