Ruth 1:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo bombi ne bagenda, ne batuuka e Beteleemu. Bwe baayingira ekibuga, ekibuga kyonna ne kisasamala olw'okubeera bo. Abakazi ne bagamba nti: “Ono si ye Nawomi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma bombi ne batambula okutuuka e Besirekemu. Bwe batuuka e Besirekemu, ekibuga kyonna ne kisasamala ku lwabwe, era abakazi ne beebuuza nti, “Ddala ono ye Nawomi?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne batambula bombi okutuuka e Besirekemu. Awo bwe batuuka e Besirekemu, ekibuga kyonna ne kisasamala ku lwabwe. Awo ne beebuuzaganya nti, “Ddala ono ye Nawomi?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo bombi ne batambula okutuuka e Betilehemu. Bwe baatuukayo, ekibuga kyonna ne kisasamala okubalaba. Abakazi baayo ne bagamba nti: “Ono ye Nawomi?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abo bombi ne batambula okutuusa lwe baatuuka e Besirekemu. Awo olwatuuka bwe baamala okutuuka e Besirekemu, ekibuga kyonna ne kisasamala ku lwabwe, abakazi ne boogera nti Ono Nawomi?