Ruth 1:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abagamba nti: “Temumpita Nawomi, wabula Mara, kubanga Omuyinza wa buli kantu obulamu bwange yabujjuza ennyiike.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe yawulira ekyo, n’abaddamu nti, “Temumpita Nawomi, naye mumpite Mala, kubanga Mukama Ayinzabyonna yalumya obulamu bwange n’okukaawa bunkayiridde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abagamba nti, “Temumpita Nawomi, naye mumpite Mala, kubanga Omuyinza w'ebintu byonna yandabya nnyo ennaku.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nawomi n'abagamba nti: “Temumpita Nawomi, naye mumpite Mara, kubanga Mukama Omuyinzawaabyonna yandeetera okubonaabona ennyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abagamba nti Temumpita Nawomi, naye mumpite Mala: kubanga Omuyinza w'ebintu byonna yankola ebikaawa ennyo.