Ruth 1:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Nagenda ndi mujjuvu, Omukama ankomezzaawo nga ndi mwereere. Mumpitira ki Nawomi, nze Omukama gwe yabonyaabonya, Omuyinza wa buli kantu gwe yalabya ennaku?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nagenda nnina ebintu bingi, naye Mukama Katonda ankomezzaawo nga sirina kantu, kale lwaki mumpita Nawomi? Katonda Ayinzabyonna yandeetera okubonaabona.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnava wano nga njijudde, era Mukama ankomezzaawo ewaffe nga sirina kantu. Lwaki mumpita Nawomi nga ate Mukama Omuyinza w'ebintu byonna yandabya nnyo ennaku?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nava kuno nga nnina bingi, naye Mukama ankomezzaawo nga sirina kantu. Mumpitira ki Nawomi ng'ate Mukama Omuyinzawaabyonna yanneefuukira n'andabya ennaku?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nnava wano nga njijudde, era Mukama ankomezzaawo ewattu nga sirina kantu: kiki ekibampisa Nawomi, kubanga Mukama yategeeza ku nze, era Omuyinza w'ebintu byonna yambonyaabonya?