Ruth 1:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'atyo Nawomi n'ajja ne Ruusi Omumowabu, mukaamwana, ng'adda okuva mu nsi y'e Mowabu. Baatuuka e Beteleemu ng'amakungula ga sayiri gatandika.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo Nawomi n’akomawo e Besirekemu, okuva mu Mowaabu ne muka mwana we Luusi Omumowaabu, mu kiseera eky’okukungula sayiri nga kyakatandika.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe batyo Nawomi ne Luusi Omumowaabu, muka mwana we, ne bava e Mowaabu ne batuuka e Besirekemu, nga bakatandika okukungula sayiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'atyo Nawomi bwe yakomawo okuva mu nsi y'e Mowaabu, ng'ali wamu ne Ruusi Omumowaabu, mukaamwana we. Baatuuka e Betilehemu ng'amakungula ga bbaale gatandika.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe batyo Nawomi n'akomawo, ne Luusi Omumowaabu, muka mwana we, wamu naye, eyakomawo okuva mu nsi ya Mowaabu: ne batuuka e Besirekemu nga kyebajje bakungule sayiri.