Ruth 1:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
abalenzi ne bawasa abakazi Abamowabu, omu ng'ayitibwa Orupa, ate omulala Ruusi; ne babeera eyo emyaka nga kkumi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Batabani be baawasa ku bakazi Abamowaabu, omu Olupa, n’omulala Luusi, ne babeera eyo okumala emyaka nga kkumi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bawasa ku bakazi Abamowaabu; erinnya ly'omu Olupa, n'erinnya ly'owokubiri Luusi, ne bamalayo emyaka nga kkumi (10).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bawasa abakazi Abamowaabu, Orupa ne Ruusi. Nga wayiseewo emyaka nga kkumi,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bawasa ku bakazi ba Mowaabu; erinnya ly'omu Olupa, n'erinnya ly'ow'okubiri Luusi: ne bamalayo emyaka nga kkumi.