Ruth 1:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yawulira nti Omukama adduukiridde abantu be, n'abawa emmere, kwe kusituka ave mu nsi y'e Mowabu adde ku butaka ne bakaabaana bombi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe yawulira ng’ali mu nsi ya Mowaabu nti Mukama Katonda yajjira abantu be n’abawa emmere, n’agolokoka ne baka baana be okuddayo mu Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Nawomi n'alyoka agolokoka ne baka baana be, addeyo nga ava mu nsi ya Mowaabu, kubanga yali awulidde ng'ali mu nsi ya Mowaabu nga Mukama bwe yali ayambye abantu be, era nga abawadde ne mmere.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Nawomi ng'ali mu nsi y'e Mowaabu, n'awulira nga Mukama yawa abantu be omukisa, ne babaza emmere nnyingi. Kyeyava asituka ne bakaabaana be, ave mu nsi y'e Mowaabu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'alyoka agolokoka ne baka baana be, addeyo ng'ava mu nsi ya Mowaabu: kubanga yali awulidde ng'ali mu nsi ya Mowaabu nga Mukama bwe yajjira abantu be ng'abawa emmere.