Ruth 1:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama abawe, mufune okuwummula buli omu mu maka ga bba.” N'abanywegera. Bo ne batema emiranga ne bakaaba,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda abawe omukisa era buli omu ku mmwe, amuwe omusajja omulala.” N’alyoka abanywegera, nabo ne bayimusa amaloboozi gaabwe, ne bakaaba amaziga,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama abawe omukisa mufumbirwe nate.” N'alyoka abanywegera ne bayimusa amaloboozi gabwe ne bakaaba nnyo amaziga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era Mukama asobozese buli omu ku mmwe okuddayo okufumbirwa, n'okufuna amaka.” N'abanywegera okubasiibula. Naye bo ne batandika okutema emiranga n'okukaaba amaziga,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama abawe okulaba okuwummula, buli omu ku mmwe mu nnyumba ya bba. N'alyoka abanywegera; ne bayimusa eddoboozi lyabwe, ne bakaaba amaziga.