Ruth 2:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ruusi n'agwa nga yeevuunise ku maaso ge, n'avunnama ku ttaka, n'amugamba nti: “Kinviiridde ku ki nze okusanga ekisa mu maaso go n'onfaako, nze omukazi omugwira?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Luusi bwe yawulira ebyo, n’avuunama ku ttaka, ng’agamba nti, “Ng’ondaze ekisa mu maaso go, n’onfaako nze, munnaggwanga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Luusi n'avuunama amaaso ge, n'akutama, n'amugamba nti, “Kiki ekindabizza ekisa mu maaso go, ggwe okunnekkaanya nze kubanga ndi munnaggwanga?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ruusi n'avuunama ng'obwenyi bwe butuukidde ddala ku ttaka, n'agamba Bowaazi nti: “Kivudde ku ki ggwe okunteekako omwoyo, n'okunkwatirwa ekisa, nze omugwira?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'avuunama amaaso ge, n'akutama, n'amugamba nti Kiki ekindabizza ekisa mu maaso go, ggwe okunnekkaanya nze kubanga ndi munnaggwanga?