Ruth 2:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bowazi n'amuddamu nti: “Bambuulira byonna bye wakolera nnyazaala wo okuva lwe wafiirwa balo, nga bwe waleka kitaawo ne nnyoko n'ensi yo mw'ozaalibwa n'ojja mu bantu be wali tomanyi mu kusooka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Bowaazi n’addamu nti, “By’okoledde nnyazaala wo kasookedde balo afa, ne bwe waleka kitaawo ne nnyoko era n’abantu bo n’ojja mu nsi ey’abantu botomanyi, babintegezezza byonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bowaazi n'addamu n'amugamba nti, “Bambuulirira ddala byonna bye waakola nnyazaala wo balo kasooka afa, era bwe waleka kitaawo ne nnyoko n'ensi gye wazaalirwamu, n'ojja mu bantu be wali tomanyiiko.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bowaazi n'amuddamu nti: “Bambuulira dda byonna by'okoledde nnyazaala wo, kasookedde balo afa, era nga bwe waleka kitaawo ne nnyoko, n'ensi mw'ozaalibwa, n'ojja okubeera mu bantu be wali tomanyiiko.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bowaazi n'addamu n'amugamba nti Bambuulirira ddala byonna bye waakakoze nnyazaala wo balo kasooka afa: era bwe waleka kitaawo ne nnyoko n'ensi gye wazaalirwamu, n'ojja mu bantu be wali tomanyiiko.