Ruth 2:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne Ruusi n'agamba nti: “Mukama wange, singa nno nnyongedde okusanga ekisa mu maaso go! Onkubagizza, n'oŋŋumya newandibadde nga sisaanira na kubeera omu ku bawala bo abakuweereza.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Luusi n’addamu nti, “Nneeyongere okulaba ekisa mu maaso go mukama wange, kubanga oyogedde ebigambo ebyekisa eri omuweereza wo era emmeeme yange ogizizza mu nteeko wadde nga sigwanira kuba omu ku baweereza bo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Luusi n'addamu nti, “Ondaze ekisa Mukama wange; era onsanyusizza kubanga oyogedde n'omuzaana wo eby'ekisa newakubadde nga siri ng'omu ku bazaana bo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ruusi n'agamba nti: “Ondaze ekisa, mukama wange. Ondeetedde okuwulira essanyu bw'oyogedde nange eby'ekisa, wadde nga senkana n'omu ku bazaana bo!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'ayogera nti Ndabe ekisa mu maaso go, mukama wange; kubanga onsanyusizza, era kubanga oyogedde n'omuzaana wo eby'ekisa, newakubadde nga siri ng'omu ku bazaana bo.