Ruth 2:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obudde obw'okulya bwe bwatuuka, Bowazi n'amugamba nti: “Jjangu wano, funa ku kagaati, okoze ne mu nkaatu.” Ruusi n'atuula awo ku lusegere lw'abakesa, n'amuweereza empeke ensiike, n'alya, n'akkuta n'alemwa n'okulemwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekiseera ekyokulya bwe kyatuuka, Bowaazi n’agamba Luusi nti, “Jjangu okoze omugaati gwo mu wayini akatuuse.” Awo Luusi bwe yatuula wansi, Bowaazi n’amuwa sayiri ensiike, n’alya, n’akkuta, n’emulemera nawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ekiseera eky'okulya bwe kyatuuka, Bowaazi n'agamba Luusi nti, “Jjangu olye ku mmere okoze ne mu mwenge omukaatuufu.” Luusi n'atuula wamu n'abakunguzi, ne bamuwa sayiri ensiike, n'alya n'akkuta n'alemwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo obudde obw'okulya bwe bwatuuka, Bowaazi n'agamba Ruusi nti: “Jjangu olye ku mmere, okoze ne mu nva.” Ruusi n'atuula wamu n'abakunguzi. Bowaazi n'amuweereza bbaale omusiike. Ruusi n'alya n'akkuta, era n'alemerwawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo obudde bwe bwatuuka okulya Bowaazi n'amugamba nti Jjangu olye ku mmere okoze ennoga yo omwenge omukaatuufu. N'atuula ku mabbali g'abakunguzi: ne bamuwa sayiri ensiike, n'alya n'akkuta n'alemwa.