Ruth 2:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yasituka alonderere ebirimba, Bowazi n'alagira abalenzi be nti: “Ne bw'akuŋŋaanya mu binywa, temumusobeza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma ng’okulya kuwedde, n’agolokoka agende alonde, era Bowaazi n’alagira abaddu be nti, “Ne bw’anaalonda mu binywa temumugaana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Luusi bwe yali azzeeyo okulonda ebirimba, Bowaazi n'alagira abalenzi be ng'ayogera nti, “Mumulekenga n'alonda ne mu binywa so temumugananga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Ruusi bwe yasituka n'addayo okulonda ebirimba, Bowaazi n'agamba basajja be nti: “Mumuleke alonde n'awali ebinywa, temumuvunaana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe yagolokoka okulonda, Bowaazi n'alagira abalenzi be ng'ayogera nti Alonde ne mu binywa so temumuvumanga.