Ruth 2:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ruusi n'alonderera mu nnimiro okutuusa akawungeezi. Bye yakuŋŋaanya n'abiwuula; sayiri gwe yaggyamu n'aweza ng'efa nnamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Luusi n’alonda mu nnimiro okutuuka akawungeezi, oluvannyuma n’awuula ne sayiri gye yali akuŋŋaanyizza, n’aweza nga kilo kkumi na ssatu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'alonda mu nnimiro okuzibya obudde, n'awuula gye yali alonze, newera nga efa namba eya sayiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ruusi n'alonda ebirimba mu nnimiro okuzibya obudde. Bwe yabiwuula, n'afunamu bbaale ajjuza ekisero ekinene.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'alonda mu nnimiro n'azibya obudde: n'awuula ze yali alonze, ne ziba nga efa eya sayiri.