Ruth 2:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abitwala, n'addayo mu kibuga; nnyazaala we n'alaba bye yali akuŋŋaanyizza, era n'aggyayo n'amuwa ku mmere eyali efisseewo ng'amaze okukkuta.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yonna n’agyetikka, n’agitwala mu kibuga, ne nnyazaala we n’agiraba. Era yamuleetera ne ku mmere gye yali afissizzaawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agyetikka, n'ayingira mu kibuga; n'alaga nnyazaalawe gyalonze, era n'amuwa ne mmere eyasigalawo ng'amazze okukkuta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'akomawo mu kibuga, n'alaga nnyazaala we bbaale gw'akuŋŋaanyizza, n'amuwa n'emmere eyali esigaddewo ng'amaze okukkuta.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agyetikka, n'ayingira mu kibuga: nnyazaala we n'alaba z'alonze: n'aleeta n'amuwa eyasigaddewo bwe yamala okukkuta.