Ruth 2:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nnyazaala we n'amugamba nti: “Leero wakuŋŋaanyizza wa? Wakoledde wa? Aweebwe omukisa oyo eyakufuddeko.” N'abuulira nnyazaala we ew'oyo gye yakoledde, n'amugamba nti: “Erinnya ly'omusajja gwe nkoze naye ye Bowazi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nnyazaala we yasanyuka nnyo, era n’amubuuza nti, “Wakoze mu nnimiro y’ani leero? Aweebwe omukisa oyo akukwatiddwa ekisa!” Awo Luusi n’abuulira nnyazaala we nannyini nnimiro mwe yakoze, n’erinnya ly’omwami nga ye Bowaazi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo nnyazaala we n'amubuuza nti, “Olonze wa leero era okoze wa emirimu? Aweebwe omukisa oyo akusizaako omwoyo.” Luusi n'ategeeza nnyazaala we nti, “Leero nkoze mu nnimiro y'omusajja ayitibwa Bowaazi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nnyazaala we n'amubuuza nti: “Olonze wa olwaleero? Okoze wa? Mukama awe omukisa oyo akutaddeko omwoyo.” Awo Ruusi n'ategeeza nnyazaala we nti yali akoze mu nnimiro y'omusajja gwe bayita Bowaazi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo nnyazaala we n'amugamba nti Olonze wa leero? era okoze wa emirimu? aweebwe omukisa oyo akwekkaanyizza. N'ategeeza nnyazaala we oyo bwe yali gw'akoze naye, n'ayogera nti Omusajja gwe nkoze naye leero erinnya lye Bowaazi.