Ruth 2:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ko Nawomi nti: “Omukama amuwe omukisa, oyo ataggya kisa kye ku balamu n'abafu.” Ate n'amugamba nti: “Oyo wa luganda lwaffe; ali mu abo abalina obuvunaanyizibwa okutununula.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nawomi namugamba nti, “ Mukama Katonda atalekanga kulaga kisa eri abalamu n’abafu, amuwe omukisa. Anti omusajja oyo muganda waffe ddala, era y’omu ku banunuzi baffe ddala.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nawomi n'agamba muka mwana we nti, “Mukama awe omusajja oyo omukisa. Mukama atuukirize by'asuubiza abalamu n'abafu. Omusajja oyo muganda waffe ddala, y'omu ku banunuzi baffe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nawomi n'agamba mukaamwana we nti: “Mukama bulijjo atuukiriza by'asuubiza abalamu n'abafu, awe omusajja oyo omukisa.” N'ayongera nti: “Omusajja oyo waaluganda lwaffe ddala, omu ku abo abateekwa okutulabirira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nawomi n'agamba muka mwana we nti Aweebwe Mukama omukisa, atannaleka kisa kye eri abalamu n'eri abaafa. Nawomi n'amugamba nti Omusajja oyo muganda waffe ddala, omu ku banunuzi baffe.