Ruth 2:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ko Ruusi Omumowabu nti: “Yandagidde na kino nti: ‘Sigala n'abakozi bange, okutuusa bye bankungulira byonna nga biweddewo.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Luusi Omumowaabu n’ayongerako nti, “N’okuŋŋamba yaŋŋambye nti nkolere wamu n’abakozi be okutuusa lwe balimala eby’okukungula bye.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Luusi Omumowaabu n'agamba nti, “N'ekirala, aŋŋambye nti, ‘nnondenga Sayiri n'abakozi be, okutuusa amakungula okuggwaako.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ruusi Omumowaabu n'agamba nti: “N'ekirala, aŋŋambye nti nnondenga bbaale n'abakozi be, okutuusa amakungula okuggwaako.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Luusi Omumowaabu n'ayogera nti Weewaawo, aŋŋambye nti Onoobeeranga kumpi n'abalenzi bange, okutuusa lwe balimala eby'okukungula byange byonna.