Ruth 2:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nawomi n'agamba Ruusi mukaamwana we nti: “Muwala, ekyo kye kisinga obulungi gy'oli singa onoosigala kumpi ne bawala be, kubanga mu nnimiro y'omulala okyayinza okusobezebwa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Nawomi n’agamba Luusi muka mwana we nti, “Kijja kuba kirungi nnyo muwala wange, okubeeranga kumpi nabaweereza be abakazi, kubanga singa onoogenda mu nnimiro y’omulala akabi kayinza okukutuukako.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Nawomi n'agamba Luusi muka mwana we nti, “Kirungi, mwana wange, obeerenge wamu n'abazaana be, balemenga okukusiŋŋaana mu nnimiro endala yonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nawomi n'agamba Ruusi nti: “Kirungi mwana wange, okolerenga wamu n'abawala abakola mu nnimiro ya Bowaazi oyo, olemenga okutawaanyizibwa mu nnimiro y'omuntu omulala.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Nawomi n'agamba Luusi muka mwana we nti Kirungi, mwana wange, oyitenga wamu n'abazaana be, so baleme okukusiŋŋaana mu nnimiro endala yonna.