Ruth 2:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'atyo Ruusi n'asigala ne bawala ba Bowazi okulonderera okutuusa eŋŋano ne sayiri byonna nga bimaze okukungulibwa; kyokka yabeeranga wa nnyazaala we.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Luusi n’abeeranga kumpi n’abaweereza ba Bowaazi ng’alonda okutuusa amakungula ga sayiri n’eŋŋaano bwe gaggwa, n’abeeranga wamu ne nnyazaala we.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Luusi n'abeeranga kumpi n'abazaana ba Bowaazi okulondanga okutuusa bwe baamala amakungula ga sayiri n'amakungula g'eŋŋaano; n'eyeyongera okubeera ne nnyazaala we.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Ruusi n'akolanga n'abo okulonda, okutuusa amakungula ga bbaale n'ag'eŋŋaano lwe gaggwa. Era n'ayongera okubeeranga ne nnyazaala we.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'abeeranga kumpi n'abazaana ba Bowaazi okulondanga okutuusa bwe baamala amakungula ga sayiri n'amakungula g'eŋŋaano; n'atuula ne nnyazaala we.