Ruth 2:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agenda, n'alonderera ebirimba abakesa mwe baabanga bayise. Kazzi ennimiro gye yeesangamu nga nnyiniyo ye Bowazi ow'omu kika kya Elimeleki.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amangwago, n’agenda, n’atandika okulonda mu nnimiro abakunguzi we bayise. Awo ne yesanga ng’atuuse mu nnimiro ya Bowaazi, ow’omu kika kya Erimereki.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'agenda, n'ajja n'alonda mu nnimiro abakunguzi we bayise; era olwatuuka n'asanga ekitundu ky'ennimiro ekya Bowaazi, eyali ow'omu kika kya Erimereki.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Ruusi n'agenda, n'atuuka mu nnimiro, n'alonda ebirimba bya bbaale, abakunguzi bye baalekamu. Awo n'asanga ekitundu ky'ennimiro ekya Bowaazi ow'omu nnyumba ya Elimeleki.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agenda, n'ajja n'alonda mu nnimiro abakunguzi we bayise: era olwatuuka n'asanga ekitundu ky'ennimiro ekya Bowaazi, eyali ow'omu kika kya Erimereki.