Ruth 2:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate mu kadde ako Bowazi naye n'atuuka ng'ava e Beteleemu, n'alamusa abakesa nti: “Omukama abeere nammwe.” Nabo ne bamwanukula nti: “Omukama akuwe omukisa.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiseera kye kimu Bowaazi n’atuuka okuva e Besirekemu, n’agamba abakunguzi be nti, “ Mukama Katonda abeere nammwe.” Nabo ne bamuddamu nti, “Naawe Mukama Katonda akuwe omukisa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era, laba, Bowaazi n'ava e Besirekemu n'agamba abakunguzi nti, “Mukama abeere nammwe.” Ne bamuddamu nti, “Mukama akuwe omukisa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne Bowaazi yennyini n'ava e Betilehemu, n'alamusa abakunguzi nti: “Mukama abeere nammwe.” Ne bamuddamu nti: “Mukama akuwe omukisa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era, laba, Bowaazi n'ava e Besirekemu n'agamba abakunguzi nti Mukama abeere nammwe. Ne bamuddamu nti Mukama akuwe omukisa.