Ruth 2:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nnampala n'addamu nti: “Oyo ye muwala Omumowabu; yajja ne Nawomi nga bava mu nsi y'e Mowabu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’amuddamu nti, “Ono ye muwala Omumowaabu eyajja ne Nawomi okuva e Mowaabu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuddu eyali akunguza abakunguzi n'addamu n'ayogera nti, “Ono ye muwala Omumowaabu eyakomawo ne Nawomi okuva mu nsi ya Mowaabu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuweereza n'addamu nti: “Ono ye muwala Omumowaabu, Nawomi gwe yakomawo naye ng'ava mu nsi y'e Mowaabu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuddu eyali akunguza abakunguzi n'addamu n'ayogera nti Ono ye muwala Omumowaabu eyakomawo ne Nawomi okuva mu nsi ya Mowaabu: