Ruth 2:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yasabye nti: ‘Munzikirize nnonderere, nkuŋŋaanye mu binywa nga ngoberera abakesa mwe baba bayise.’ Yazze era obwedda akola okuva ku makya n'okutuusa kati, nga tawumuddeemu n'akatono.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Atwegayiridde alondelonde abakunguzi we bayise mu binywa, era asiibye akola okuva obw’enkya okutuusa essaawa eno, okuggyako akabanga akatono ke yawumuddemu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Atugambye nti, ‘Mbeegayiridde, nnonde, era nkuŋŋaanye abakunguzi we bayise mu binywa;’ awo n'ajja, era asiibye wano obw'enkya okutuusa kaakano, wabula ng'ayingiddeko mu nnyumba katono.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yansabye mmukkirize okukuŋŋaanya ebirimba bya bbaale, omwo abakunguzi mwe bamaze okusiba ebinywa. Awo n'ajja, era asiibye wano ng'akola okuva ku makya, era kati kyajje awummuleko katono mu kasiisira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ayogera nti Nnonde, mbeegayiridde, nkuŋŋaanye abakunguzi we bayise mu binywa: awo n'ajja, era asiibye wano obw'enkya okutuusa kaakano, wabula ng'ayingiddeko mu nnyumba katono.