Ruth 3:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ko Bowazi nti: “Muwala, Omukama akuwe omukisa; ekisa n'obwesigwa bwo kati bisinze n'ebyasooka, kubanga tozze mu kunoonya bavubuka, abaavu oba abagagga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bowaazi n’amuddamu nti, “ Mukama Katonda akuwe omukisa muwala ggwe, olw’ekisa ekinene kyondaze okusinga eky’olubereberye, kubanga togenze wa bavubuka, abagagga oba abaavu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bowaazi n'amugamba nti, “Mukama akuwe omukisa mwana wange, kubanga ku nkomerero olaze obwesigwa bungi mu kika kyaffe, okusinga obwo bwe walaga nnyazaalawo olubereberye; kubanga togoberedde balenzi balala oba baavu oba bagagga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bowaazi n'agamba nti: “Mukama akuwe omukisa mwana wange. Kino ky'okoze kaakano, kiragidde ddala obwesigwa bwo, n'okusinga ebyo bye wakolera nnyazaala wo. Kubanga wandisobodde okunoonyaayo abavubuka, abagagga oba abaavu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Oweebwe Mukama omukisa, mwana wange: olaze ekisa ekisinga obungi enkomerero okukira olubereberye, kubanga togobereranga balenzi, oba baavu oba bagagga.