Ruth 3:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Leka nno kutya, muwala; kyonna ky'onoogamba nzija kukikukolera; anti abantu bonna ab'omu kibuga kyange bakumanyi bw'oli omukazi ow'ekitiibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano, muwala ggwe, totya. Nzija kukukolera buli kintu kyonna ky’onoosaba. Abantu bange bonna ab’omu kibuga, bamanyi ng’oli mukazi mwegendereza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale kaakano mwana wange totya; nja kukukolera byonna by'onsabye, kubanga abantu bonna mu kibuga bamanyi ng'oli mukazi mwegendereza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kaakano, teweeraliikirira Ruusi, nja kukukolera kyonna ky'osaba, kubanga abantu bange bonna mu kibuga, bamanyi ng'oli mukazi mwegendereza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne kaakano, mwana wange, totya; naakukola byonna by'oyogera: kubanga ekibuga kyonna eky'abantu bange bamanyi ng'oli mukazi mwegendereza.