Ruth 3:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sigaanyi, nze nteekeddwa okukununula, naye waliyo ow'oluganda obuvunaanyizibwa obw'okukununula gwe bugwako ennyo okusinga nze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kya mazima ddala ndi mununuzi wo, naye waliwo ansingako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kya mazima ndi mununuzi wo, naye waliwo ow'oluganda omulala ansinga okuba ow'okumpi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kya mazima nga ndi waaluganda ow'okumpi, ateekwa okukulabirira. Naye waliwo omusajja owooluganda olw'okumpi okusinga nze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kaakano kya mazima nga nze mununuzi wo: naye waliwo omulala ansinga nze oluganda.