Ruth 3:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sigala ekiro kino; nga bukedde, bw'anaayagala okukununula, kale anaakununula; bw'anaaba tayagadde, Mazima Omukama nga mulamu, tewali kubuusabuusa, nze nnaakununula. Weebake okutuusa enkya.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Beera wano okutuusa obudde lwe bunaakya. Kale bw’anaayagala okukutwala, kinaaba kirungi; naye bw’anaaba nga tasiimye, Mukama Katonda nga bw’ali omulamu, nnaakutwala.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Beera wano ekiro kino, bwe bunaakya enkya, tujja kulaba oba ow'oluganda anaakukolera emirimu gy'oluganda; naye bw'atakkirize kukukolera mirimu gya luganda, nze ndigikukolera, nga Mukama bw'ali omulamu, weebake obudde bukye.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sula wano ekiro kino. Bwe bunaakya enkya, tujja kulaba oba ng'anaakulabirira, oba nga taakulabirire. Bw'aba ng'anaakulabirira, kirungi. Bw'aba nga taakulabirire, ndayira Katonda omulamu nti nze neetegese okukulabirira. Kaakati sigala wano weebake okutuusa obudde okukya.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Beera wano ekiro kino, awo olunaatuuka enkya bw'anaakukolera emirimu egy'oluganda, kale, akole emirimu egy'oluganda: naye bw'atakkirize kukukolera mirimu gya luganda, kale nze ndikukolera emirimu egy'oluganda, nga Mukama bw'ali omulamu: galamira okeese obudde.