Ruth 3:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ruusi ne yeebaka awo ku bigere bye okutuusa enkeera; naye yazuukuka bukyali ng'abantu tebannasobola kwawula ono ku oli. Bowazi n'agamba nti: “Wekkaanye! Tewabaawo amanya nti omukazi yazzeeko wano mu gguuliro.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’agalamira kumpi n’ebigere bye okutuusa enkeera, naye n’agolokoka nga tebunnalaba addeyo eka. Naye Bowaazi n’amukuutira nti, “Kireme okumanyibwa nti omukazi yazzeeko mu gguuliro.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Luusi ne yeebaka okumpi n'ebigere bye okukeesa obudde. N'asituka nga obudde tebunnalaba bulungi omuntu okwekkaanya munne kubanga Bowaazi yayogera nti, “Kireme okumanyibwa ng'omukazi ono azze mu gguuliro.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ruusi ne yeebaka kumpi n'ebigere bya Bowaazi okutuusa obudde okukya. N'agolokoka nga tebunnalaba bulungi muntu kwetegereza munne, kubanga Bowaazi teyayagala bantu bamanye ng'omukazi ono azze mu gguuliro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agalamira ku bigere bye okukeesa obudde: n'agolokoka omuntu nga tannayinza kwekkaanya munne. Kubanga yayogera nti Kireme okumanyibwa ng'omukazi ono azze mu gguuliro.