Ruth 3:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agamba era nti: “Ndeetera omunagiro gwe weebikkiridde, ogwanjuluze.” Bwe yagwanjuluza, Bowazi n'ayiwamu ebipimo mukaaga ebya sayiri, n'abimutikka. N'addayo mu kibuga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era n’amugamba aleete omunagiro gw’ayambadde; n’agukwata, n’amugerera ebigero mukaaga ebya sayiri, n’abimutikka, oluvannyuma Luusi n’addayo mu kibuga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bowaazi n'agamba Luusi nti, “Ddira omunagiro gwo ogwalirire wansi.” Bowaazi naddira ebigero mukaaga (6) ebya sayiri n'abiyiwaako, n'abimutikka n'amusiibula addeyo mu kibuga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bowaazi n'amugamba nti: “Leeta ekyambalo kye weesuulidde, okyanjuluze.” Ruusi n'akyanjuluza. Bowaazi n'amuteerako kilo ng'amakumi abiri eza bbaale, n'azimutikka. Ruusi n'addayo mu kibuga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Leeta omunagiro gw'oyambadde, ogukwate; n'agukwata: n'agera ebigero mukaaga ebya sayiri, n'abimutikka: n'agenda mu kibuga.