Ruth 3:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ruusi bwe yatuuka eri nnyazaala we, Nawomi n'amubuuza nti: “Muwala, bikugendedde bitya?” Ruusi n'amunyumiza byonna oli bye yali amukoledde,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe yatuuka eri nnyazaala we, Nawomi n’amubuuza nti, “Byagenze bitya muwala wange?” N’amubuulira ebintu byonna Bowaazi bye yamukoledde,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe yatuuka eka, nnyazaala we n'amubuuza nti, “Bigenze bitya, mwana wange?” Luusi n'amubuulira byonna, Bowaazi by'amukoledde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe yatuuka eka, nnyazaala we n'amubuuza nti: “Bigenze bitya, mwana wange?” Ruusi n'amubuulira byonna, Bowaazi by'amukoledde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe yatuuka eri nnyazaala we, n'ayogera nti Ggwe ani, mwana wange? N'amubuulira byonna omusajja by'amukoledde.