Ruth 3:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'ayongerako nti: “Yampadde n'ebipimo mukaaga ebya sayiri ng'agamba nti: ‘Saagala odde wa nnyazaala wo ngalo nsa.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era n’ayongerako nti, “Yampadde ebigero bino omukaaga ebya sayiri, n’aŋŋamba nti, ‘Toddayo wa nnyazaala wo ngalo nsa.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amugamba nti, “Ebigero bino omukaaga (6) ebya sayiri yabimpadde n'aŋŋamba nti, ‘Toddayo wa nnyazaala wo nga tolina kantu.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agamba nti: “Kilo zino ng'amakumi abiri eza bbaale, azimpadde ng'agamba nti: ‘Togenda eri nnyazaala wo ngalo nsa.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amugamba nti Ebigero bino omukaaga ebya sayiri abimpadde; kubanga ayogedde nti Togenda eri nnyazaala wo nga tolina kantu.