Ruth 3:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nawomi n'agamba nti: “Muwala, lindako okutuusa ng'otegedde gye bikkidde, kubanga mmanyi omuntu oyo tajja kuweera okutuusa ng'ebintu abigonjodde olwa leero.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nawomi n’amugamba nti, “Gumiikiriza, muwala wange, olabe ebigambo gye binakkira, kubanga leero omusajja oyo tajja kuwummula okutuusa ensonga eyo lw’anagimala.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nawomi n'amugamba nti, “Tuula osirike mwana wange, okutuusa lw'olimanya ebigambo ebyo gye birikkira; kubanga omusajja oyo tajja kuwummula okutuusa lw'anaamala okutereeza ensonga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nawomi n'amugamba nti: “Kaakano, tuula osirike, mwana wange, okutuusa lw'onoomanya bino gye binakkira, kubanga omusajja ono tajja kuwummula olwa leero okutuusa ng'amaze okutereeza ensonga eyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'alyoka agamba nti Tuula ng'osirika, mwana wange, okutuusa lw'olimanya ebigambo gye birikkira; kubanga omusajja oyo tajja kuwummula okutuusa lw'anaamalawo ekigambo kino leero.