Ruth 3:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne Bowazi nnyini bawala b'obadde nabo mu nnimiro, si wa luganda lwaffe? Ate laba ekiro kino yennyini ajja kubeera ng'awewa sayiri mu gguuliro lye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ewa Bowaazi gy’obadde n’abaweereza be abawala, ye muganda waffe. Kale, ekiro kya leero ajja kuba ng’awewa sayiri mu gguuliro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kaakano Bowaazi muganda waffe taliiwo gye wabeeranga n'abazaana be? Laba awewa sayiri ekiro kino mu gguuliro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kaakano, nga bw'omanyi, tulina oluganda olw'okumpi ne Bowaazi, nnannyini bawala abaweereza b'obadde okola nabo. Kati nno wulira: olweggulo lwa leero, ajja okuwewa bbaale mu gguuliro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kaakano Bowaazi muganda waffe taliiwo gye wabeeranga n'abazaana be? Laba, awewa sayiri ekiro kino mu gguuliro.