Ruth 3:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'anaaba agenze okwebaka, wekkaanye ekifo we yeebase; oluvannyuma ojja kugenda obikkule ebigere bye, weebake, ye anaakubuulira eky'okukola.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma ng’agalamiddeko wansi, weetegereze ekifo w’agalamidde, ogende obikkule ku bigere bye emirannamiro, naawe ogalamire awo; anaakubuulira eky’okukola.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olunaatuuka bw'anaagalamira n'eyeebaka, wekkaanye ekifo wagalamide, naawe onoyingira n'obikkula ku bigere bye, n'ogalamira awo; naye anaakubuulira bw'onookola.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wekkaanye ekifo w'anaagalamira. Bw'anaaba yeebase, ogende obikkule ku bigere bye, ogalamire awo. Olwo ye, anaakubuulira eky'okukola.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olunaatuuka bw'anaagalamira, wekkaanye ekifo mw'anaagalamira, naawe n'oyingira n'obikkula ebigere bye, n'ogalamira; naye anaakubuulira bw'onookola.