Ruth 3:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bowazi bwe yamala okulya n'okunywa, ng'acamuseemu, n'agenda yeebaka eri egguuliro gye likoma kumpi n'entuumu z'emiganda. Ruusi n'asooba mpola n'amubikkula ebigere, ne yeebaka awo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Bowaazi bwe yamala okulya n’okunywa, era nga musanyufu, n’agenda n’agalamira ku mabbali g’entuumo ye ŋŋaano. Luusi naye n’asooba mpola mpola, n’abikkula ku bigere bye, n’agalamira awo kumpi naye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Bowaazi bwe yamala okulya n'okunywa, omutima gwe nga gusanyuse, n'agenda ku mabbali g'entuumo y'eŋŋaano n'agalamira yeebake. Awo Luusi najja ng'asooba n'abikkula ku bigere bya Bowaazi naye n'agalamira awo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bowaazi bwe yamala okulya n'okunywa, n'aba musanyufu, n'agenda okugalamirako ku mabbali g'entuumu ya bbaale, ne yeebaka otulo. Ruusi n'ajja ng'asooba, n'abikkula ku bigere bya Bowaazi, n'agalamira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Bowaazi bwe yamala okulya n'okunywa, omutima gwe nga gusanyuse, n'agenda okugalamira ku mabbali g'entuumo y'eŋŋaano: n'ajja ng'asooba, n'abikkula ku bigere bye n'agalamira.