Ruth 4:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Bowazi n'ayambuka ku mulyango gw'ekibuga, n'atuula awo. Aba akyali awo ow'oluganda omu eyalina obuvunaanyizibwa obw'okununula n'atuuka, n'amugamba nti: “Kyamako otuule wano;” n'akyama, n'atuula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Bowaazi n’ayambuka ku wankaaki w’ekibuga n’atuula awo. Mu kiseera kye kimu, muganda we oli gwe yayogerako ngali ne Luusi, yali ayitawo. Bowaazi n’amuyita namugamba nti, “Jjangu otuuleko wano munnange.” Naye n’akkiriza, n’agenda n’atuula we yali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Bowaazi n'agenda awali omulyango gw'ekibuga awakuŋŋaanirwa n'atuula awo; laba muganda wa Erimereki Bowaazi gwe yayogerako nga yamusinga okuba ow'okumpi n'ayitawo; Bowaazi n'amugamba nti, “Owange, muganda wange! kyama otuule wano.” N'akyama n'atuula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Bowaazi n'ayambuka mu kifo awakuŋŋaanirwa ku mulyango gw'ekibuga, n'atuula awo. Olwo owooluganda lwa Elimeleki asinga okuba ow'okumpi, Bowaazi gwe yali ayogeddeko, n'ayitawo. Bowaazi n'amuyita nti: “Owange, kyama, otuuleko wano.” Oli n'akyama, n'atuula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Bowaazi n'ayambuka eri omulyango, n'atuula eyo: era, laba, muganda we oyo Bowaazi gw'ayogeddeko n'ayitawo; n'amugamba oyo nti Owange, gundi! kyama otuule wano. N'akyama n'atuula.