Ruth 4:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne Ruusi Omumowabu, mukazi wa Makuloni, naye mmututte abeere mukazi wange, nsigazeewo erinnya ly'omufu n'obusika bwe busigalewo, erinnya lye lireme kuggweekerera mu baganda be ne mu kibuga kye. Kale nno mmwe bajulirwa b'ekigambo kino.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ne Luusi Omumowaabu, nnamwandu wa Maloni, naye mututte okuba mukazi wange, okusobola okukuuma erinnya ly’omugenzi Erimereki n’ebintu bye, erinnya lye lireme okufiira awo ate n’okugibwa ne ligibwa mu bitabo bye byafaayo eby’ekibuga. Mmwe bajulirwa!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Luusi Omumowaabu mukazi wa Maloni mmuguze okuba mukazi wange, okuzaawo erinnya lya bba eyafa n'obusika bwe bireme okuzikirira mu baganda be ne mu mulyango gw'ekifo kye; mmwe muli bajulirwa leero.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era Ruusi Omumowaabu, nnamwandu wa Maaloni, mmuguze okuba mukazi wange, ebintu by'omufu oyo biryoke bisigale mu b'omu nnyumba ye, era ezzadde lye lireme kuzikirira mu baganda be ne mu kibuga kye. Mmwe bajulirwa leero.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Luusi Omumowaabu mukazi wa Maloni mmuguze okuba mukazi wange, okuddizaawo obusika bwe erinnya ly'oyo eyafa, erinnya ly'oyo eyafa lireme okuzikirira mu baganda be ne mu mulyango gw'ekifo kye: mmwe muli bajulirwa leero.