Ruth 4:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu bonna abaali ku mulyango n'abakadde ne baanukula nti: “Tuli bajulirwa. Omukazi ono agenda okuyingira mu nnyumba yo, Omukama amukolere nga bwe yakolera Rakeli ne Leya, bombi abaazimba ennyumba ya Yisirayeli. “ ‘Beera muzira mu Efurata, era erinnya lyo limanyike mu Beteleemu.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abakadde n’abantu bonna abaali ku wankaaki ne boogera nti, “Tuli bajulirwa. Mukama Katonda amufaananye nga Laakeeri ne Leeya, abaazimbira awamu ennyumba ya Isirayiri. Naawe Bowaazi oyale mu Efulasi, era oyatiikirire mu Besirekemu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abantu bonna n'abakadde b'ekibuga awakuŋŋaanirwa ne bagamba nti, “Ffe bajulirwa. Mukama afaananye omukazi azze mu nnyumba yo nga Laakeeri ne Leeya, abaazimba bombi ennyumba ya Isiraeri; naawe okole ebisaana mu Efulasa, oyatiikirire mu Besirekemu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakulembeze n'abalala bonna ne bagamba nti: “Ffe bajulirwa. Omukazi azze mu nnyumba yo, Mukama amufuule nga Raakeeli ne Leeya, bombi abaazaalira Yisirayeli abaana. Naawe okulaakulane mu nnyumba ya Efuraati, oyatiikirire mu Betilehemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abantu bonna abaali mu mulyango n'abakadde ne boogera nti Ffe tuli bajulirwa. Mukama afaananye omukazi azze mu nnyumba yo nga Laakeeri ne Leeya, abaazimba bombi ennyumba ya Isiraeri: naawe okole ebisaana mu Efulasa, oyatiikirire mu Besirekemu: