Ruth 4:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'atyo Bowazi n'atwala Ruusi, n'afuuka mukazi we. Bowazi yajja gy'ali, Omukama n'amuwa n'aba olubuto, n'azaala omwana wa bulenzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Bowaazi n’awasa Luusi okuba mukazi we, n’ayingira gy’ali, n’aba olubuto, Mukama Katonda n’amusobozesa okuzaala omwana owoobulenzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Bowaazi n'atwala Luusi okuba mukaziwe. Mukama n'awa Luusi omukisa n'aba olubuto, n'azaala omwana ow'obulenzi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Bowaazi n'atwala Ruusi, ne bafumbiriganwa. Mukama n'awa Ruusi omukisa, n'aba olubuto, n'azaala omwana wa bulenzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Bowaazi n'atwala Luusi, naye n'amufiunbirwa; n'ayingira gy'ali, Mukama n'amuwa olubuto, n'azaala omwana wa bulenzi.